Namugereka Katonda Lyrics











>> YOUR LINK HERE: ___ http://youtube.com/watch?v=V0ufyqjoh_U

Subscribe to catholic song Lyrics👉:https://bit.ly/3ryxWGr • Subscribe and Follow to other channels👉: https://linktr.ee/allstarmusic1 • 🎶 Namugereka Katonda Omukuumi wange (lyrics) • NAMUGEREKA KATONDA OMUKUMI WANGE LYRICS:🙌🎤 • Namugereka katonda omukumi wange, • Ggwe buggaga bwenterese, • Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange. • Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange, • Mukama essubi ly’abanoonya, • Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy’obeera. • Namugereka, Namugereka ggwe, byonna ebyange; • Biri mu ggwe, ggwe busika obwange, • Mberera muyambi ggwe, ba mpeera yange; • Mukama essubi ly’abanoonya, • Nnyweza nkuwereze, ntuuke gy’obeera. • Namugereka Katonda, ggwe Muggaga bwenterese; • Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange, • Ggwe alibeera empeera eyange, • Mukama essuubi ly’abanoonya, • Nnyweza ntuuke gy’obeera. • Namugereka Katonda, ye ggwe byonna. • Biri mu ggwe byonna, ggwe busika bwange, • Ggwe nyamba obe empeera yange; • Mukama essuubi ly’abanoonya, • Nnyweza ntuuke gy’obeera. • Jjinja ery’omuwendo erinnonyezebwa wonna • Ye ggwe ayi Mukama. • Akusanga aba yeesimye ggwe anti • Entabiro y’ebirungi byonna, • Ssegomba bitiibwa bya nsi enno, • Buggaga na masanyu gayo, • Bayita kkuutwe; ayi Mukama w’oli biba kantu ki? • Namugereka Katonda Omukumi wange, • Ggwe buggaga bwenterese • Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange. • Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange; • Mukama essubi ly’abanoonya, • Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy’obeera • Ku bakwemaliza ggwe ssanyu ye ggwe dembe, • Gwe manyi ga balwanyi • Abakuwereza olibaweera, • Ggwe ow’obwenkanya omuzirakisa • Abakwesiga tebaliswaala • Abakweyuna abo beesimye balimatira, • Balijuka ki? • Balibulwa ki ate abakusenga nga ggwe olina byonna? • Ggwe nnyini byonna, ggwe ntabiro, • Ensulo y’ebirungi eby’olubeerera • Namugereka Katonda Omukumi wange, • Ggwe buggaga bwenterese • Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange. • Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange; • Mukama essubi ly’abanoonya, • Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy’obeera. • Nzuuno nno, obulamu bwange mbuuza wuwo, • Mu kisa kyo, ggwe wantonda • Nneewa ggwe leero, ggwe Nnantalemwa, • Ggwe nsinza Mukama wange, • Nzuuno nsenza mbe naawe. • Namugereka Katonda Omukumi wange, • Ggwe buggaga bwenterese • Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange. • Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange; • Mukama essubi ly’abanoonya, • Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy’obeera. • Ombeereranga kikubagizo • Ttala ey’okumulisa mu makubo gange. • Mu lutalo lw’omunsi muno onnyambanga • Notandeka kugwa mu mikono gy’abalabe bange. • Onyambanga n’omukono gwo ogwa ddyo • Nompa okuwangula abalabe bange. • Onnywezanga n’eneema yo etaremwa Mukama • N’onnyamba nenkuweereza. • Ng’obwomunsi buweddeko, • ontwalanga gy’obeera • N’ombalira mu babo • Namugereka Katonda Omukumi wange, • Ggwe buggaga bwenterese • Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange. • Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange; • Mukama essubi ly’abanoonya, • Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy’obeera. • Namugereka Katonda Omukumi wange, • Ggwe buggaga bwenterese • Biri mu ggwe byonna ebyange, ggwe busika bwange. • Mbeerera muyambi ggwe aliba empeera eyange; • Mukama essubi ly’abanoonya, • Nnyweza nkuweereze, nkutuke gy’obeera. • Hey there! • If you have any song requests, and business, feel free to message me. • Want any tracks in Lyrics? • ►💌☎️Contact me at [email protected] • #Namugereka #Namugerekakatonda #catholicsongs #catholicsonglyrics #katonda #UGlyrics #Ugandalyrics #catholicsonglyrics

#############################









New on site
Content Report
Youtor.org / YTube video Downloader © 2025

created by www.youtor.org